Okutaasa obutonde:E Fort Portal waliwo akwatiddwa
Poliisi evunaanyizibwa ku butonde bw'ensi mu kibuga Fort Portal eriko omusubuuzi w'erinnya e buui eyo gw'egombyemu obwala, ng'emulanga kuyiwa ttaka mu lutobazi lw'omugga Mpanga. Abakulembeze mu kitundu kino bazze balabula abo abeeyita abagagga okukomya okujjuza olutobazi luno n'ettaka n'ekigendererwa eky'okuzimbamu naye nga buteerere. Batubuulidde nti ono bamukutte nga akabonero nti teri ayinza kubalemerera nti era kati ekikwekweto kyatandise obutaddirizza okutuusa nga batasiizza omugga guno.