Okutegeka akalulu k’emirembe: Waliwo abaagala obuyinza bwa pulezidenti bukendeezebwe
Abamu ku balondoola ebyokulonda muggwanga baagala obuyinza bw’omukulembeze weggwnaga bukendeezebwa mu Ssemateeka nga yengeri yokka eyinza okuvaako ebitiongole poliisi, amagye, n'akakiiko k’ebyokulonda okukola nga byetengeredde Bano bagamba nti ebitongole bino obutetengerera by'ebimu ebivuddeko obululu bwa Uganda okubeeramu obutabanguko kubanga ababiddukanya babeera baagala okukuuma emirimu gyabwe. Bino byebimu ku byogeddwa mu nsisinkano y'abatambulirako eby’obululu muggwanga ng'eno ebadde egendereddwamu kutema mpenda ku ngeri y'okukuuma emirembbe mu biseera bya Kalulu.