Okutta Lwomwa Daniel Bbosa: Tabula ayagala abaakwatibwa bayimbulwe
Luggya Tabula,agambibwa okuluka olukwe lw’okutta omugenzi Eng Daniel Bbosa eyali omukulu w’ekika kye Ndiga, asabye kkooti yejeereze era ete abantu abana abasooka okukwatibwa mu musango guno oluvanyuma lw'okwewaako obujulizi nakkiriza nti ebyakolebwa byonna yeyabiri emabega. Tabula ono okuva lweyakwatibwa, ebigambo abadde tabirumamu okukkirizza nti yeeyatta Lwomwa era nga n'ensonga ze aziwa.