Okutulugunya olw’ekikula ky’abantu:Waliwo enkola etongozeddwa okutaasa abayizi
Abekitongole ki UNESCO nga bali wamu N'amatendekero agawaggulu agenjawulo wano mu ggwanga, batongoza kaweefube gwe batuumye ya Safer campuses, agendereddwamu okulwanisa emize gyokutulugunya abantu okusinziira ku kikula kyabwe, kiyite gender based violence .Dr Euzobia Baine, nga ono y'akulira akakiiko akalwanisa emize nga gino e Makerere, agamba baakafuna emisango 36 egyekuusa ku kukabasanya abayizi.