Okuziyiza abeekalakaasi: E Masaka amagye ne poliisi basiibye ku bwerinde
Mu bitundu by'e Masaka, poliisi n'amagye bakedde kwetoolola kibuga kyonna n'ekigendererwa ekiremesa abantu b'egamba nti baabadde bateseetese okwekalakaasa nga bawakanya enguzi esusse. Ayogerera poliisi ebuuyi eyo Twaha Kasirye atubuulidde nti abekalakaasi bano baabadde tebafunye lukusa nga kale kibadde kibakakatako okubatangira.