Okwesimuuza ttawulo n’eddugala:Abaguku bannyonnyodde kwe kiva
Emirundi mingi abantu bafuna okusoberwa oluvannyuma lw'okunaaba oluvannyuma lwa ttawulo zaabwe okukyafuwala nga bamaaze okwesimuula. bangi kino kibagobwe ne ttawulo enjeru okusobola okukuuma ku buyonjo naye nga ne laangi endala zebagula kumpi week w'etuukira wakati nga nazo zirabika bulala. Okuwanuuza kungi buli omu kw'alina ku nsonga eno, nga abamu balowooza kiva ku butonde bwa muntu kko abandi nti bulwadde.