Oluguudo lw’e Kigungu luli mu mbeera mbi, munisipaali eyagala ku lweddiza
Abaddukanya munisipaali ye Ntebe baagala aba minisitule ya works ebakkirize okukola oluguudo lw’e Kigungu lwe bagamba nti luswaza eggwanga. Oluguudo luno oluweza Kilomter mukaaga lwe lwetooloola ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe era nga kizibu okubuusa amaaso naddala ng’ogwa ku kisaawe ky’e Ntebe mu budde bw’emisana. Oluguudo luno lwa ttaka era nga lujjudde ebinnya.