Oluguudo oluva e Kikolongo okutuuka e Mpondwe lwa kudabirizibwa
Omukulembeze we ggwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozza omulimu gw'okuddaabiriza oluguudo oluva ekikolongo okudda e Mpondwe ku nsalo ya Uganda n’eggwanga li Congo nga luwerako obuwanvu bwa kiromita 38. Oluguudo luno lubadde lujjudde ebinya ekibadde kikaluubiriza abasuubuzi abalukozesa n’okuleeta obububenje.