Olunaku lw’abaana; waliwo abaagala bakuguke mu tekinologiya
Minisitule y'ebyuma bikalimagezi kko n'amawulire etubuulidde nga bw'egenda okweyambisa ebyuma bikali magezi okuyamba abaana okutambulira ku misinde ensi kw'etambulira. Bino bigidde mu kaseera nga Uganda yegasse kunsi yonna okujjukira olunaku lw'abaana. Omwaka guno omulaka gwateekeddwa ku kyakulaba nga abaana tebalekebwa mabega mulembe gwa tekinologiya ensi kwetambulira.