Olutalo lw’emmwaanyi; bannabyabufuzi balututte mu balonzi
Ababaka ba palamenti ab'oludda oluvuganya bagamba nti ensonga ya gavumenti okuggyawo ekitongole ky'emwaanyi ki UCDA erina kulamulwa mu kalulu ka 2026, nga kokka ke kajja okusalawo oba ekitongole kino kikomawo oba nedda na ddala nga abalonzi banalonda abantu abagaliza eggwanga lino.Bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi babadde Bukomansimbi nga basisinkana abalimi b'emwaanyi okubategeeza ku lutabaalo olwaali mu palamenti nga bakola enoongosereza ku teeka lye emwaanyi eryaggyawo ekitongole ki UCDA ekivunaanyizibwa ku mutindo gwayo.