Omugotteko ku kisaawe Entebbe, abayingira eggwanga bayitiridde obungi
Abaddukanya ekisaawe kye Ntebe balabudde abantu abatekateeka okukozesa ekisaawe ky’ennyonyi entebe nti bateketeeke engendo zaabwe mu budde nga kino kivudde ku bungi bw’abasaabaze. Omwogezi w’ekitongole ekikola ku mbuuka z’ennyonyi ki Civil Aviation Authority Vianney Lugya agambye nti olwabantu abangi abayingira, ko nabafuluma eggwanga, kyangu nnyo omuntu okusubwa ennyonyi ebadde emutwala.