Omusumba w’e Masaka alambudde abasibe
Omusumba we ssaza lye Masaka Serverus Jjumba akyalidde abasibe mu makomera agasangibwa mu bizinga bye Sesse n’abasaba okubeera abakakkamu, n’okukkiriza okudda eri Mukama. Ababuulidde nti bagwana bakozese akadde kano ak’obusibe , okwenenya n’okukyusa mpisa zaabwe, kyoka mu byonna baleme okuggwamu esuubi.