Omuze gw’okukomola abakazi, abaaguwagiranga kati be bagulwanyisa
Ebitundu ebiwangaliramu amawanga agamanyiddwa ennyo olw’enono y’okukomola abakyala bigenze biraba omusana olw’abaangi abavuddeyo n’ebatandika okudibya omuzze guno. Kino kituukiddwako olw’akawefube akoleddwa Government n’ebitongole by’obwanakyeewa okumala emyaka miingi nga basomesa abantu ku bibi ebiri mu muzze guno. Baangi abaali abakomola abakyala obwambe babusuula dda muguluka n’ebegatta ku mugendo gw’abavumirira omuzze guno ogutatana ekitiibwa ky’omwana muwala. Omusassi waffe Herbert Kamoga yalina ebikira ku bino.