Poliisi ennyonnyodde lwaki obubenje bw’okunguudo bukyali butono
Poliisi y’ebidduka etubuulidde nga eky'okuyiwa basajja baayo ku nguudo ng'obudde bukyali ,bwe kiyambye ennyo okutangira obubenje obungi obutera okugwawo mu kaseera kano ak'ennaku enkulu. Ayogerera ekitongole kino Micheal Kananura atubuulidde nti tebannafunayo kabenja kamaanyi mu ggwanga lyonna nga kekuusa ku nnaku nkulu , ekibawadde amaanyi nti ebikwekweto byabwe bivuddemu ekiramu. Kyoka alabudde abagoba be biduka bonna naddala abavuga engendo empavu nti poliisi yandibataataganya singa bavvoola amateeka g’okungudo.