Poliisi eriko beekutte ku bikujjuko by’okwaniriza omwaka
Poliisi egamba nti ekutte abantu 100 Abagambibwa okwenyigira mu misango egyenjawulo mu kiro ky'okwaniriza omwaka ekikeesezza leero mu bifo ebyenjawulo wamu mu Kampala. Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire atubuulidde ne ku musajja gwe bakutte n'amasasi abiri mu kkanisa emu esangibwa mu division ye Makindye. Kyoka Owoyesigyire agamba nti okutwaliza awamu embeera yabadde nzikakkamu nga bannakampala baaniriza omwaka omujja.