Posta Uganda yeetaaga obuwumbi 19 okudda engulu
Tukitegedde nti Minisitule y'ebyamawulire kko n'ebyuma bikali magezi yetaaga ensimbi obuwumbi kumi na mwenda mu obukadde bibiri bweeba ya kuzza ngulu ekitongole ki Posta Uganda Limited ekitambuza amabaluwa n'ebitereke. Bino byogeddwa minisita omubeezi ow'ebyamawulire Godfrey Kabbyanga bwabadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti akenjawulo akateekebwawo okulaba butya ekitongole kino bwekiyinza okuddamu okutojjera.Kyoka akakiiko era wano wekakizuulidde nti bulijjo posta Uganda ekola naye nga License yaakyo yaggwako dda.