Shamim Malende addusiddwa ebweru w’eggwanga okujjanjabwa
Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende kitegeerekese nga bwatwaliddwa mu ddwaliro e Kenya okujjanjabwa, nga kino kiddiridde embeera okwongera okwononeka.Malende abadde ajanjabirwa mu ddwaliro e Nsambya , kyoka atugambye nti abakugu baayo bebamugambye nti agendeko mu Agha Khan Hopsital e Kenya ayongere okufuna obujanjabi.Kinajjukirwa nti embeera ya Malende yayononeka oluvanyuma lwa lw’abaali balowoozebwa okuba ab’ebyokwerinda okumuwalabanya nga bamujja mu palamenti ku mpaka mu November w’omwana oguwedde palamenti bweyali eyisa ebbago lye teeka ku mmwanyi.