Ssente muzikozesa ki? ab’akakiiko k’eddembe babakunyizza mu kakiiko ka palamenti
Ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola eby’amateeka batadde abakulu abaddukanya akakiiko k’eddembe ly’obuntu ku nninga okunnyonnyola lwaki ssente ezibaweebwa mu mbalirira yaabwe tezigenda ku bunvunanyizibwa bwabwe obw’enkizo okuli okunoonyereza ku kutyobola eddembe ly’obuntu, kyokka nebeddira mu kukola ebintu ebirala ng'okugula ebifaananyi by'omukulembeze w'eggwanga byebawanika mu wofiisi. Bano embaliria yaabwe ey’omwaka ogujja ya buwumbi 32 n’ezigwanmu naye nga bagamba nti ssente zino ntono okutambuza obuvunaanyizbwa bwaabwe.