Tubadde tutulugunyizibwa: Aba NUP abaayimbuddwa boogedde bye babadde bayitamu
Kyaddaaki bannakibiina kya NUP ababadde batamanyiddwako mayitire oluvannyuma lw'okukwatibwa abebyokwerinda ku balaza ya wiiki gyetukuba amabega, bamaze ne bateebwa Ku bano kwekuli ne Peter Wambi, famile ye gwebadde emaze ennaku ng'enoonya ku poliisi ezenjawulo wabula nga taliiyo. Abalala abayimbuddwa kuliko Ashiraf Mwanje ne Alex Karamagi Amanyiddwa nga Dog City kyokka bonna balumiriza nti babadde batulugunyizibwa .