Uganda y’emu ku mawanga aganaakozesa eddagala erigema omusujja
Kitegeerekese nga omwaka ogujja Uganda bweteekateeka okutandika okugema omusujja gw'ensiri nga yakusooka n'abaana . Kino kyaddiridde ekitongole ky'ensi yonna ekyebyobulamu okukkiriza era nga dozi ezigenda okugabibwa zigenda kubeera nnyo. Ab'ebyobulamu baakutandikira mu bitundu ebisinga ennyo okutaataganyizibwa n'omusujja guno.