UNEB etangaazizza nti waliwo amasomero agatannabifuna ebyavudde mu bigezo
Abaddukanya essomero lya Green Valley Primary School e Masanafu eryatuuza abayizi abaali bakeneenyezebwa obulwadde bwa Ebola bali mu kusoberwa olw’obutafuna alizaati za PLe ez’ebigezo by'Oluzungu ne Social Studies. Grace Nakazzi akulira essomero linno agamba nti ku bigezo ebinna ebyawandikibwa baafunyeeko alizaati z'akubala ne sayaansi. Kati ekitongole ky’ebigezo ki UNEB kitandisse okutunula mu nsonga eno.