UPDF, Police ne Kawanda SS zifunye obuwanguzi mu mpaka za Handball
Ttiimu y’abakyala eya Uganda Police ekubye Kyambogo University ggoolo 35 ku 16 mu liigi y’omuzannyo gwa Handball ku kisaawe kya Police Childrens School e Kibuli okusobola okwenyewereza mu kifo ekisooka ku kimeeza kya liigi. Mu geri y’emu Kawanda Secondary School ekubye Victoria University ggoolo 21-14 ate UPDF n’ewangula Nkajja ggoolo 38 ku 18. Bo aba Ndejje University obubonero bafunye bwa kumukeeka oluvannyuma lw’abawala ba Makerere University be babadde balina okuttunka nabo okugobwa mu liigi eno olw’obutalabikako mu mizannyo esatu.