Waliwo abalumbye ekyalo ne basaawa emmere y'abantu
Abatuuze ku kyalo Nabbale e Nakifuma mu distulikiti y’e Mukono basigadde mu kusoberwa oluvanyuma lw’abantu be batamanyi okubalumba n’ebasaawa emmere yaabwe. Abazigu banno tebakomye ku kusaawa mmere wabula bakozze n’obulumbaganyi ku batuuze b’enyini nga bakoonye enyumba zaabwe wamu n’okutiisasiita okubatematema. Entabwe evudde ku nkayana eziri ku ttaka eriweeza yiika 10 ng’eriyo abantu abalumiriza okuba banyini lyo nga n’olwekyo bagezaako okutiisatiisa abatuuze okulyaamuka.