Waliwo abeekubidde enduulu ku musajja atandise okubatiisatiisa ku kibanja kyabwe
Ku kyalo Butenga C mu gombolola y’e Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi waliwo abatuuze abalumiriza munnaabwe okubalumba n’ejjambiya nga ayagala okubagoba ku kibanja kyabwe. Bano bagamba nti omusajja ono yabalumbye bali mu kulima, n’atandika okukuba amasasi mu bbanga Poliisi ensonga zino oluzitegeddeko n’etandika okunonyereza.