Wuuno namagoye eyamazeeyo obwa S.6
Zainab Namuli, Y'omu ku bayizi abaakoze obulungi ku ssomero lya Buloba Royal College erisangibwa mu district ye Wakiso. Namuli ono teyandibadde mboozi, naye mu kikula kye mweru oba namagoye ng'okusomoozebwa kwe bayitamu na ddala okukaluubirirwa mu kulaba, engeri gye byayiseemu yewuunyisa. Ono nno katono family ye emwegaane nga yakazaliibwa, wabula olw'okutya Katonda, ono baasalawo bamulage omukwago ogumutusiizza ku byengera by'alabako olwaleero.