Yinsuwa zibaliyirire, abaafiiriddwa ebyabwe mu muliro gw’okubbiri bawabuddwa
Abakugu mu nkola ya Yinsuwa bawabudde abaafiiriddwa ebintu byabwe mu muliro ogwakutte Garagi y'e mmotoka e mulago kubbiri okuddukira mu yinsuwa zaabwe zibaliyirire naddala eri abo ab'ebidduka. Kinajjukirwa nti bangi ku bannyini mmotoka baabadde batadde nnyini kifo ku nninga okubaliyirira, newankubadde naye teyasigazza kantu. Kati aba Yinsuwa bagamba nti tegugwana kuba mutawaana gwa nnyini kifo yekka, kubanga naye tannamanya wattima eyakoleezezza omuliro guno.