ZUNGULU: Abayaaye mu ghetto ya Kibulooka basazewo kulokoka
Bannakampala mwandifuna ku buwerero, oluvannyuma lw'abayaaye mu ghetto ya Kibulooka okusalawo nebalokola era nebalayira obutaddamu kubabba busimu bwammwe.Kyokka basabye nti bwebakusanga ng'ogolinamu,tobalinda kukemebwa,ggwe kwata bukwasi kyolina obaweeyo.Abaagobwa mu Lubigi nabo bazze luno, baleetedde bannamawulire ba Zungulu obujulizi obwaliibwa ensanafu okukakasa obwannanyini ku bibanja kwe bali.