ZUNGULU: Biibino ebisesa ebibadde mu wiiki
Ekibiina ki Democratic Party okutuuka ku ttabamiruka waakyo, kubadde kuyita mu ttanuulu yennyini kubanga waliwo bannakibiina ababadde balayidde okakasa nti tebaawo era nga baalumbye n'ekitebe okugajambula abaliwo. Bano nno ssenkulu w'ekibiina Norbert Mao abasekeredde n'abasaba n'okusala puleesa. Ye Luttamaguzi Ssemakula olw'ayingidde NUP n'atandikirawo okubayigiriza ennyimba z'aludde nga ayiiya.