Ssemaduuka wa ‘China town’: Abasuubuzi batuula bufo, batadde URA ku nninga
Abasuubuzi abakolera mu kampala balaze olw’okutya olw’emiwendo ssemaduuka wa China Town super store kw’atundira ey’amaguzi nga bagamba nti ayolekedde okubagoba mu busuubuzi.Bano bagamba nti okusinziira ku misolo gyebasasula ku buli kintu ekiyingira eggwanga kiba kizibu omusuubuzi owabulijjo okutundira ku bbeeyi esobola okuvuganya ne ssemaduuka waba China ono.Kati bano basoomozezza Uganda Revenue Authority erage eggwanga empapula aba China bano kwebasasulira emisolo kyokka akulira ssemaduuka ono David Kabarage mukwanukula ategeezezza nti emisolo nabo bagisasula bulungi ng’abalala.