Aba Rotary y’e Kira beeyamye, tugenda kutumbula embeera z’abantu
Banna Rotary e Kira, bagamba baakufuba okulaba nga bakyusa embeera z’abantu okwetoolola eggwanga lyonna nga bayita mu buweereza bwabwe. Okwogera bino babadde bakyusa obukulembeze bwabwe okufuna pulezidenti ow’okutaano Millicent Bulafu, aweze okulaba nga alwana okulaba nga asakira ekibiina kye, n’ebiruubirirwa byabwe byongera okubuna mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo. Ate ye pulezidenti avuddeko Lillian Ntuulo Jolooba, ategeezeza nti wewaawo okusomoozebwa kubaddewo, naye bafubye okutuukiriza obyeyamo bwabwe bwebakola nga baakakwasibwa obuyinza naddala okutumbula embeera z’omwana omulenzi.