Abakulembeze b'e Kawempe benyamidde olw’abazadde abatayagala kutwala baana babwe ku masomero
Abakulembeze be Kawempe benyamidde olw’abazadde abatayagala ku twala baana babwe kumasomero nga ate amasomero ga gav’t weegali. Abakulembeze bagamba mu Kawempe abaana abasomba sikulaapu beeyongedde, abamu nebenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka lwa butatwalibwa ku ssomero. Bino byogeddwa Meeya w’e Kawempe bwabadde atongoza okugabira abaana abataliiko mwasirizi basale.