Abasajja baffe batibwa magye; bannamwandu e Buyende beekolamu omulimu
Waliwo ekyalo Buyumba ekisangibwa mu disitulikiti y’e Buyende, okujjude annamwandu, bano balumiriza nga ba bbaabwe bwebazze batibbwa amagye agalwanyisa envuba mbi ku nyanja. Bannamwandu bano okwenaazaako ennaku beekolamu ekibiina, era ng’omulimu ogubagatta gwakukuba mayinja okwebezaawo n’ebamulekwa. Mu mboozi eno katulabe ekyalo kino, nebizibu bannamwandu bano byebasanga.