Abasawo abakolera mu malwaliro ga KCCA basabye ababakulira babongereko obungi
Abasawo abakolera mu malwaliro ga KCCA basabye ababakulira babongereko obungi olw’omuwendo gwabwe okuba omutono bwogerageranya n’omuwendo gw’abalwadde bebafuna. KCCA erina amalwaliro munaana nga galimu abasawo 400 bano nga bebalina okukola kubantu abawangaalira mu Kampala n’emiriraano abasaba mu kakadde akalamba. Okwogera bino babadde ku kabaga kaabwe akabategekeddwa ekitongole kino.