Nga tukyagenda mu maaso n’emboozi z'amazaalibwa, tugenda kwogera ku myaka gya ekelezia egy'enjawulo
Nga tukyagenda mu maaso n’emboozi zaffe ez'amazaalibwa, tugenda kwogera ku myaka gya ekelezia egy'enjawulo. Ebiseera ebisinga naddala mu nzikiriza y’ekikatoliki, ebyawandiikibwa nga bigenda okusomwa omutambizi omukulu ayanjulira abakkiriza omwaka gw’ekelezia oguba gutambula mu budde obwo. Mu mboozi eno katweyongera okumanya emyaka gya ekelezia n’amakulu gaagyo.