Abalimi okuva e Buwama bakubiriziddwa okwettanira ennima ey’omulembe
Abalimi okuva mu Town council ye Buwama n’ebitundu ebiriranyewo, bakubiriziddwa okwettanira ennima ey’omulembe olwo lwebanaganyulwa mu bulimi bwabwe. Bino bibategezeddwa mu musomo gwebabaddemu, ogwategekeddwa ab’ekitongole ki Mpigi District Farmers Association nga batendekebwa engeri y’okukozesaamu ebijimusa mu mmwanyi kwosa n’okubayigiriza okulunda embizzi.