Abatuuze ku byalo bisatu e Kalungu basula batudde olwa baluti ezibamazeeko emirembe
Abatuuze ku byalo bisatu mu disitulikiti y’e Kalungu basula batudde olwa baluti ezibamazeeko emirembe. Ennyumba ezimu zigudde ate endala zizzeemu enjatika. Bano baliranye ekirombe kya China Construction Company eky’amayinja.