Ssaabasaja Kabaka avumiridde enneeyisa etagya nsa mu lukiiko olukulu olw’eggwanga
Ssaabasaja Kabaka avumiridde enneeyisa etagya nsa mu lukiiko olukulu olw’eggwanga nga ebiseera ebimu bigwera mukulwanagana ky’agambye nti kiwa ekifaananyi ekikyamu - agamba kati owamaanyi y’afuna obuwanguzi. Bino abiweeredde mu bubabaka bwe obwamazaalibwa obusomeddwa minisita we ow'amawulire era omwogezi w’obwakabaka Israel Kazibwe Kitooke ku Bulange e Mengo.