Abasawo bagamba enzijanjaba y'ebyuma teyettaniddwa
Abasawo abajjanjaba n’okukebera nga bakozesa ebyuma baagala gav’t eyongere ku sente z’ebawa okusobola okutambuza obulungi emirimu gyabwe.
Bano bagamba nti wadde batono ekyewunyisa ebikozesebwa ebiriwo tebibamala ekibakaluubiriza mu buweereza bwabwe.
Bano era basabye n'abantu okukomya okutya ebyuma bino nga beesigama ku bulimba obubitambuzibwako.
Olwaleero abasawo bano bajaguzza olunaku lw’enzijjanja nga beeyambisa ebyuma kiyite Radiography.