Abayizi ba S.6 balambikiddwa bye bagenda okugoberera
Olwaleero abayizi ba siniya ey’omukaaga lwebalambikiddwa kwebyo byebalina okugoberera nga bakola ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo kiyite Briefing, byebagenda okutandika ku balaza ya sabiiti ejja.
Bbo abakulira amasomero benyamivu olw’ebintu ebikozesebwa mu kukola ebigezo bino eby’ongerwa ebbeeyi buli bigezo bya siniya ey’omukaaga olutuuka nga baagala gav’t ebeereko kyekola.
Era abayizi balabuddwa obuteenyigira mu bikolwa by’okukoppa ebigezo bino - tutuseeko mu masomero ag’enjawulo nga abayizi bali mukweteekateeka.