Abawala betwakulaga e Kamuli baziddwayo ku ssomero
Gyebuvuddeko twakulaga abaana ab’obuwala babiri e Kamuli abaali basobeddwa embeera oluvanyuma lw’okubulwa ensimbi ez’okusoma. Bano nga baali mu siniya yakutaano wabula nga booza ngoye ku kyalo okunoonya ensimbi ezibatwala ku somero wabula nga zibuze. Oluvanyuma lw’okukola emboozi eno omumyuka wa ssaabaminisita ow’okubiri Rebecca Kadaga yasazeewo abaana bano okubaweerera nga wetwogerera bazeeyo ku somero.