Abasiraamu bawereddwa emmwanyi ku UMSC
Abasiraamu bakubiriziddwa okwenyigira mu nteekateeka za gav’t ez’okwekulaakulanya nga balima emmwanyi ne Cocoa. Kizuuliddwa nga abasiraamu eby’okulima bwebaali babivaako ekizing’amya enkulaakulana yabwe. Bino byogeddwa Imam Shaffic Kagiiko avunaanyizibwa ku by’emirimu ku UMSC bwabadde mukutongoza okulima emmwanyi ku Old Kampala.