Bana ku bavunaanibwa okutta Lwomwa basabye kkoooti okuyimbulwa
Tabula Lugya Bbosa eyali omutwe omukulu mu kutemula eyali omukulu w’ekikka ky’endiga Eng. Daniel Bbosa asabye kkooti okukkiriza abantu 4 kwabo abavunaanibwa naye okuteebwa kuba bbo tebalina kyebamanyi ku ttemu lino. Luggya agamba nti tasobola kuwozesebwa n’abantu b’amanyi obulunji nti tebalina musango. Akakasiza kkooti nti yye Noah Luggya eyakuba amasasi bebalina okuwozesebwa musango guno. Bano babadde bakomezeddwawo mu kkooti ya mwanga II e Mengo.