Buganda y'eyamye okukolaganira awamu ne disitulikiti y’e Wakiso okutumbula n'okukulaakulanya abantu
Obwakabaka bwa Buganda bweyamya okukolaganira awamu ne disitulikiti y’e Wakiso okulaba nga batumbula n'okukulaakulanya abantu. Bino by'ogeddwa omumyuka wa Katikkiro ow'okubiri ow’ekitiibwa Robert Wagwa Nsibirwa bwabadde mu lukung’aana lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ya disitulikiti ya Wakiso ey’omwaka ogujja. Ono akubirizza abakulembeze okulaba nga bakyusa embeera z'abantu n'okubakulaakulanya.