E Myanzi mu Kassanda RDC ayimirizza eyeeyita nannyini ttaka okutiisatiisa abantu
Abatuuze b’e Myanzi e Kassanda bayise olukiiko olw’amangu oluvanyuma lw’omusajja ategerekese nga Moses Mugerwa ayagala okubagobaganya ku ttaka.
Abatuuze bagamba nti ono abadde yagaana obusuulu ate nga atandise n’okutunda ebibanja byabwe mbu abaweemu ebyappa kyatakola.
RDC w’e Kassanda agumizza abatuuze n’ategeeza nga bwewatali agenda kubagoba ku ttaka n’abasaba bakwate obusuulu babutwale ku ggomgolola, kyoka n’agamba nti yennanyini ttaka asooke kubalaga kyapa.