Ebigezo bya S.4: Minisitule tennafuna kyakukolera bagudde
Minisita w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni, asabye abayizi abaagudde ebigezo by’omwaka oguwedde nga baali mu nsoma nkadde banoonye ebirala eby’okukola. Agamba nti omwaka oguwedde gwokka gwegwaweebwayo eri abayizi abaali baagwa, n’abo abaafuna obuzibu mu bigezo ebyo beebokka abaweebwa omukisa ogw’okubiri okubituula. Mu ngeri y’emu minisitule etegeezezza nga bwetannafuna nteekateeka eri abayizi abagudde ebigezo mu nsoma eno empya, okuddamu ekibiina oba nabo okunoonya ekirala eky’okukola. Okwogera bino babadde bafulumya ebivudde mu bigezo bya siniya ey’okuna.