Janet Museveni akunze abazadde okuyigiriza abaana baabwe empisa n'emirimu
Minista w'ebyenjigiriza era nga ye mukyala w'omukulembeze w'eggwanga Janet Kataha Museveni akunze abazadde okuyigiriza abaana baabwe empisa n'emirimu ebisukka ku by’ebabasomesa mukibiina lwebajja okuba ab'omugaso. Janet asinzidde Masaka mu nsisinkano gyabaddemu n'abakulembeze, abakulira amasomero wamu ne bannadiini nga oluvanyuma asisinkanye abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo n’abakubirizza okuba abawulize wamu n’okwekuuma.