Yiino entandikwa y’olukiiko olutaba obusiraamu mu ggwanga
Olunaku lw’eggulo abakulira ekitebe ky’obusiramu ku Kasozi kampala mukadde baajaguzza nga bwegiweze emyaka 52 bukyanga lukiiko olukulembera obusiraamu lu Uganda Muslim Supreme Council lutandikibwawo. Olukiiko luno lusobodde okuleetawo enkulakulana mu busiramu omuli okuzimba emizigiti egyiwera, nebivamu ensimbi newankubadde nalwo luyita mu kusomooza. Kati leero katulabe ku byafaayo ebitonotono ebiraga entandikwa y’obusiraamu.