Ssaabasumba Ssemogerere alabudde abakuuma ddembe abatyobola eddembe ly’obuntu
Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere, avumiridde eky'abakuuma ddembe okwenyigira mu kutyobola eddembe ly'obuntu, ne wankubadde nga bazze balabulwa enfunda eziwerako.Okwongera bino Ssaabasumba abadde akulembeddemu ekitambiro kya Misa y'okujaguza nga bwegiweze emyaka 10, bukya ekeleziya ya St Charles Lwanga e Ntinda efuuka e Kigo.