Ab’enzikiriza ya Budha baduukiridde abayizi abali mu bwetaavu
Bannayuganda abali yaddeyaddeko mu by’enfuna basabiddwa okuduukirira abali obubi,naddala nga bayambako okuweerera abaana babanaku abateeyinza. Bino bibadde mu bubaka obuweereddwa akulira enzikiriza ya Budha mu ggwanga Kabogoza Budharakitah bw’abadde aggalawo olusirika lwabaana olumaze ennaku musanvu nga lukwajja ku kiggwa kyabwe ekikulu e Ntebe. Olusisira luno lutambulidde ku mulamwa gwa kunyweza buntubulamu mu baana.