Abakozi b’e sundiro ly’amafuta e Kassanda batemaatemeddwa
E Kassanda poliisi eri ku kawefube wa kunoonya bakyalakimpadde abaazinze esuundiro ly’amafuta li Stabex ku kyalo Luswa mu disitulikiti eye Kassanda ne batematema abakuumi 4, oluvanyuma ne bakuliita ne nsimbi ezitanamyika muwendo. Tukitegedde nti bano basoose kuwamba bakuumi , oluvanyuma nebatandika okunyaga, kko nokutematema abakozi.poliisi etubuulidde nti etandise okunonyereza ku nsonga eno.